Numbers 20:8-9

8 a“Twala omuggo, ggwe ne muganda wo Alooni mukuŋŋaanye ekibiina kyonna. Lagira olwazi nga n’ekibiina kyonna kiraba, lujja kufukumula amazzi. Bw’otyo obaggire amazzi mu lwazi, basobole okunywako, era banywese n’ebisibo byabwe.”

9 bMusa n’aggya omuggo awali Mukama n’agutwala nga Mukama Katonda bwe yamulagira.
Copyright information for LugEEEE